Ensi Tekungulwa
Heavenly Angels Choir
6:09VERSE 1: Nali muto Kati nkuze ku bye nzize ndaba Nga Mukama ddala alina amaanyi Ku bantu Naddala abo abamukkiriza Ng'afuba nnyo bafune essuubi Wadde bayita Mu kiwonvu eky'ennaku n'amaziga ckifuula eky'essanyu eringi Nga balinnya Batambula bagenda bwebati Balyoke bafune essuubi Tebaabulwenga abanoonya Mukama n'obwesigwa Nga bafuba okukola by'agamba Yalayira Nti aliba akkuse ebyo bye yasuubiza Kuba yekka alina amaanyi CHORUS: Tuyimuse Erinnya lya Katonda omwesigwa Tumusinze alina amaanyi ctakangibwa ctalemwa ng'atandise okola Erinnya lye nga lya ttendo Eyo mu ggulu cbaliyo eyo bakuyimusa Nga bakusinza olina amaanyi Kuno ku nsi Gwe mukwano gw'abo abalina ennaku Ekitiibwa kibe gyoli VERSE: 2 Neebaza Mukama ku bye nzize nfuna Mukama ddala alina amaanyi cmpanirira N'awuggula ebizibu ne mpona Ekitiibwa kibe gyoli Gwe atidde ckaaba amaziga sangula Wulira Mukama ky'agamba Nti talireka cbamwesiga abo alibawummuza Balye ebirungi mu nsi eno Ekiŋumya By'ebyo Mukama bye yatusuubiza Ebituwa obuvumu n'essuubi Nti mu muliro Ne mu mazzi alitulokola N'okukirawo tuwangudde CHORUS: Tuyimuse Erinnya lya Katonda omwesigwa Tumusinze alina amaanyi ctakangibwa ctalemwa ng'atandise okola Erinnya lye nga lya ttendo Eyo mu ggulu cbaliyo eyo bakuyimusa Nga bakusinza olina amaanyi Kuno ku nsi Gwe mukwano gw'abo abalina ennaku Ekitiibwa kibe gyoli VERSE: 3 Nze kye manyi Mbu Katonda oyo eyatuyita Bw'ayogera aba ayogedde cnywerera, ku bisuubizo bye yatusuubiza Mu buyinza bwe alina amaanyi Ssi mwana wa muntu Okwogera ate n'alemererwa Ebyo abalyammere bye batulimba Naye Katonda Ow'obuyinza alitulokola Ennaku yo giwe gyali Biki ebigaanye? Muyite gwe mu buzibu bwo cnaakulwanira onosirika Ekimulema, mu nsi muno nze ssinakiraba Kuba yekka alina amaanyi CHORUS: Tuyimuse Erinnya lya Katonda omwesigwa Tumusinze alina amaanyi ctakangibwa ctalemwa ng'atandise okola Erinnya lye nga lya ttendo Eyo mu ggulu cbaliyo eyo bakuyimusa Nga bakusinza olina amaanyi Kuno ku nsi Gwe mukwano gw'abo abalina ennaku Ekitiibwa kibe gyoli VERSE: 4 Buli mutendera Gw'otuukako gubeera lubu Eyatutonda bwe yategeka Sso n'omukadde cba takyaddayo kuba muto Nga bwe tuyita mu nsi embi eti Buli mwaka gw'omaze Guba gugenze togusuubira N'ebikunyize, biba bigenze Naye Katonda anyiga ebiwundu n'atuwa essanyu Obulamu bwo buwe gyali Y'amanyi ebigaanye cmanyi amadda n'amagenda go Ye mukwano gwo, oli nfa nfe Wadde obukoowu, okuzirika nga bituwalula Gwe twesiga atuwe amaanyi CHORUS Tuyimuse Erinnya lya Katonda omwesigwa Tumusinze alina amaanyi ctakangibwa ctalemwa ng'atandise okola Erinnya lye nga lya ttendo Eyo mu ggulu cbaliyo eyo bakuyimusa Nga bakusinza olina amaanyi Kuno ku nsi Gwe mukwano gw'abo abalina ennaku Ekitiibwa kibe gyoli Repeat Chorus.