Wali
Judith Babirye
4:45Mmmh Obuntu obwo obutonono bwokola mukwano (obutonono bwokola) eeh Obuntu obwo obutonono bwokola omulungi (obutonono bwokola) tegaba mamotoka oba amayumba gano aga gololofa naye Obuntu obwo obutonono bwokola bundaga mu mutima mwe ntula Oooh wulila mwagalwa wange mmmh Obuntu Eki wangula omutima gwo mwagalwa tebibera bingi. Eki menya omutima gwo mwagalwa tebiba binene naye obuntu obwo obutonono bwokola bwe bu vaako ensigo eliwangula omutima gwo mwagalwa aah oba okumumenya. Obuntu obwo obutonono bwogela paka mu mutima munda bangi twegomba nyo okutukayo naye netutatukaa eeh obuntu obwo obutonono busumula nebwe guba gunyize nyo obuntu obwo bwe busensera amagumba munda omutima neguyiika